Matthew 20:11-15

11 aBwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro 12 bnga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’

13 c “Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu? 14Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala n’ono asembyeyo okumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde. 15 dSiyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’

Copyright information for LugEEEE